
Poliisi Ekakasizza Abantu Babiri Abafiiridde mu Kabenje ku Ssomero lya Kempton Junior School
- ByAdmin --
- Feb 05, 2024 --
Poliisi ekakasizza abantu babiri abaafiiridde mu kabenje akaabaddewo akawungeezi k’eggulo ku kizimbe ekizimbibwa ku ssomero lya Kempton Junior School e Bunnamwaya ate abalala munaana nebabuukawo n’ebisago. Newakubadde guli gutyo, tusanze emirimu gyazzeemu dda okutambula bukwakku ku kizimbe kino era nga bo bagamba tewali kyabaddewo.