
Poliisi Ekaaye ku "Ggaali" ya NRM, Ekutte Abantu 30 Abagambibwa Okukuba Abantu
- ByAdmin --
- Jun 30, 2025 --
Poliisi etegeezeza nti ekutte abantu 30 abagambibwa okubeera abawagizi b’ekibiina ki NRM abaasiwuuse empisa ku Lwomukaaga lwa Ssabbiiti ewedde bwebakkakkanye ku bantu n’ebabawutuula agakonde kwossa okubanyagako ebyabwe nga bava mu kuwerekera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Rusoke Kituuma agamba nti omuyiggo ku bantu abalala abaalabikira mu butambi obwenjawulo gukyagenda mu maaso. Wabula abakulu mu kibiina ki NRM nabo baanukudde.