Poliisi Eggye Enta mu Kunoonyereza ku Nsonga za Kyagulanyi, Egamba naye Yagyesambye
- ByAdmin --
- Sep 10, 2024 --
Poliisi eyimirizza okunoonyereza ku kavuvungano akaali e Bulindo mu munisipaali ye Kira ku bigambibwa nti abasirikale ba Poliisi baakuba akakebe ka tiyagaasi Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ekyamuviirako okufuna obuvune ku kugulu. Kino kiddiridde Robert Kyagulanyi Ssentamu okugaana okuwaayo obujulizi eri Poliisi kigiyambeko okuzuula ekituufu ekyamutuukako