
Palamenti Eyagala Kuwera Kwambala Ggomesi na Makanzu mu Ntuula Zaayo , Ababaka Bawera Okukiwakanya
- ByAdmin --
- Feb 06, 2025 --
Abamu ku babaka abava mu Buganda beeweze okufaafagana n’omuntu yenna ali emabega w’ennongoosereza mu mateeka agafuga Palamenti nga zino zitunuulidde okuwera ekkanzu ne ggomesi obutaddamu kwambalibwa babaka mu ntuula za Palamenti.Alipoota eyanjuddwa eri Palamenti akawungeezi k’olwaleero, nga kino kigendereddwamu okulongoosa endabika y’ababaka mu ntuula za Palamenti era omuntu yenna anaasangibwa nga ayambadde ekkanzu mu Palamenti ajja kukakibwa okufuluma ekisenge ekiteesebwamu oba entuula z’obukkiiko.