Palamenti Ekunyizza Abakulira Eddwaliro lye Mulago

Olwaleero akakiiko ka Palamenti kalondoola ebitongole bya gavumenti ka Public Accounts Committee kasisinkanye abakulira eddwaliro lye Mulago ku alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi oguwedde eraga vvulugu ali mu ntambuza y’emirimu mu ddwaliro lino. Ababaka batabukidde abatwala eddwaliro lino ku ngeri ebintu gyebitambulamu naddala eddagala obutabeerawo kyokka nelibeera mu bulwaliro obutono obwazimbibwa okulirano eddwaliro lino.


LEAVE A COMMENT