Owek. Waggwa Agguddewo Ttabamiruka e Wakiso, Abakulembeze Bafunye Ebirowoozo by’Obwakabaka
- ByAdmin --
- Nov 07, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda bwakwongera enkolagana n’obukulembeze bwa disitulikiti ye Wakiso okulaba nga abantu ba Kabaka bongera okukulaakulana. Obweyamu buno bukoleddwa Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde aggulawo ttabamiruka agendereddwamu okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 eya disitulikiti ye Wakiso enaatera okubagibwa.