
Owek. Sserwanga Alambudde Abavubuka mu Kyaddondo, Alambudde Kampuni n’Abantu Ssekinnoomu
- ByAdmin --
- Jun 19, 2024 --
Abavubuka bakalaatiddwa obutatya kutandikawo mirimu okweggya mu bwavu nga bwebasitula n’embeera za bannaabwe. Bino bibadde mu bubaka bwa minisita w’abavubuka, emizannyo n’ebitone mu Bwakabaka, Owek. Robert Serwanga bw’abadde alambula abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo mu Kyaddodo.