Owek. Sserwanga Alambudde Abavubuka, Atenderezza Emirimu Gyebakola
- ByAdmin --
- Feb 26, 2024 --
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’ebitone mu Bwakabaka Owek. Robert Sserwanga akalaatidde abavubuka okukola ennyo n’okutendekebwa bongere okufuna obukugu mu bintu eby’enjawulo. Owek. Robert Sserwanga bino abyogedde bwabadde alambula emirimu gy’emikono egikolebwa abavubuka mu Ssaza lya Ssaabasajja Kabaka erye Butambala.