Owek. Sserwanga Akalaatidde Balunzi b’Enkoko Okuba Abanyiikivu
- ByAdmin --
- Nov 04, 2024 --
Minista w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Ssaalongo Robert Serwanga asabye abavubuka ba Buganda okussa mu nkola ebibasomeseddwa mu kulunda enkoko z'ennyama bwebaba baagala okweggya mu bwavu. Minista okwogera bino abadde aggalawo omusomo gw'okulunda enkoko ez’ennyama ku ddundiro li Biwooma Farmers Limited e Gayaza Namayina mu Kasangati. Omusomo gumaze sabbiiti nnamba nga guyinda.