Owek. Nsibirwa Atabukidde Abavvoola Obwakabaka , Agamba Abavvoola Obwakabaka Baboolebwe
- ByAdmin --
- Jul 25, 2024 --
Obwakabaka busabye abantu baabwo okuboola omuntu yenna alengezza Nnamulondo n’okutyoboola abakulembeze kubanga abantu bano ab’olubatu bebataagala Bwakabaka kyokka nebakozesa buli kisoboka okuwabya abantu b’Omutanda. Bino byogeddwa Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro Ow’ekitiibwa Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde aggalawo olusirika lw’Abaami b’Amasaza olukulungudde ennaku essatu. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI