Owek. Noah Kiyimba Akalaatidde Bannayuganda Okwebaza Katonda Olw’ebirungi Byebatuukako
- ByAdmin --
- Mar 04, 2024 --
Minisita wa kabineeti era avunaanyizibwa mu nsonga ez’enkizo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba mweraliikirivu olw’abantu abaweddemu eddiini nebatuuka n’okukola ebikolobero ku bajjaaja nagamba nti bisaana bikome. Ono okwogera bino abadde ku mukolo ogw’okwebaza ogwategekeddwa omutandiisi wa kampuni eya BANGAFI, Kasozi Vicente Muwonge.