Owek. Mpuuga Amalirizza Enteekateeka z'Ennongoosereza mu Ssemateeka, Alinze Palamenti Kumuwa Olukusa
- ByAdmin --
- Sep 26, 2024 --
Kamiisona wa Palamenti Owek. Mathias Mpuuga Nsamba akakasizza nga bwali ku mutendera ogusembayo okumaliriza ennongooserezala z’ayagala okuleeta mu Ssemateeka era Ssabbiiti eno wennagwerako, nga buli kimu kiwedde. Bino webijjidde, nga essiga Palamenti lyeyawa omukisa okwanjula ennongoosereza ezeetaagisa likyazinze mikono era Mpuuga asinzidde mu kafubo n’omusasi waffe, n’ategeeza nti kino tekigenda kumulobera kusaba Sipiika akkirizibwe okuleeta ennongoosereza zino