
Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Alambudde Ssingo, Akubirizza Abantu ba Beene Okwettanira Bulungibwansi
- ByAdmin --
- Feb 02, 2024 --
Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku Butondebwensi, obulimi, ettaka, ne bulungibwansi, Owek. Hajjati Mariam Mayanja Nkalubo asabye abantu ba Beene okukola ennyo saako okujjumbira enteekateeka ya Bulungibwansi kiyambeko okutumbula eby’obulamu mu bitundu byabwe. Owek. Nkalubo okwogera bino abadde awuubyeko olubu lw’ekigere mu ssaza lye Ssingo nga alambula emirimu egikolebwa abantu ba Beene.