Owek. Kazibwe Akunze Abavubuka Okwagala Obuwangwa, Aggaddewo Empaka Z’olulimi Oluganda e Nakawa
- ByAdmin --
- Nov 22, 2024 --
Minisita w’amawulire era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abavubuka okwongera amaanyi mu kutegeera eby’obuwangwa n’okusoosowaza olulimi lwabwe kiyambeko okuggumiza Buganda. Owek. Kazibwe okwogera bino abadde aggalawo empaka z’olulimi oluganda nga zitegekebwa sipiika w’egGombolola ye Nakawa, Luyombya Godfrey.