
Owek. Kawuki Asabye Abakulembeze be Ssingo Okujjumbira Enteekateeka z’Obwakabaka
- ByAdmin --
- Jun 29, 2025 --
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka. Owek Joseph Kawuki asabye abantu ba Beene okuteeka amaanyi mu nteekateeka z’Obwakabaka n’okulabirira ebintu ebitandikiddwawo Obwakabaka okukyusa embeera z’abantu. Ono okwogera bino abadde Kiboga mu ssaza Ssingo gyakomekkererezza enteekateeka y’okulambula abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu ssaza ssingo.