Owek. Kawuki Alambudde Abantu ba Kabaka e Busia, Asisinkane Abakulembeze b’Ennono mu Kitundu

Obwakabaka bwa Buganda butandise enkolagana ey'omuggundu n'Obwen'engo bwa Bugwe obusangibwa e Busia okwongera okunyweza ennono, obuwangwa n'okuyambako mu kusitula embeera z'abantu n'enkulaakulana. Bino bituukiddwaako oluvannyuma lwa minisita wa gavumenti z'ebitundu n'ensonga z’ebwru wa Buganda, Owek. Joseph Kawuki okugenyiwalako mu Lubiri lw'Obwen'engo bwa Bugwe His Royal Highness Obara Robert olusangibwa e Busia nga yakiikiridde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.


https://youtu.be/5LhQyLzjAn0?si=ueBDcuNe2BUSo51Z

LEAVE A COMMENT