Owek. Kaawaase Makerere Emuwadde Engule Ey’ekitiibwa, Okunoonyereza kwe Kuganyudde Ensi Yonna
- ByAdmin --
- Feb 02, 2024 --
Ssettendekero wa Makerere awadde omumyuka asooka owa Katikkiro Al Hajj Dr. Prof Twaha Kaawaase Kigongo engule mu kunoonyereza okumwebaza olw’amaanyi n’obudde bwateeka mu kunoonyereza. Owek. Al Hajj Dr. Prof Twaha Kaawaase Kigongo yeebaziddwa n’abantu abalala 4 ku mukolo oguyindidde ku convocation center e Makerere.