Owek. Kaawaase Kigongo Atongozza Nnamutaayiika wa Muteesa, Agenda Kutambula Emyaka Etaano

Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Pro. Dr. Hajj. Twaha Kaawaase Kigongo akubirizza Ssettendekero ezenjawulo mu ggwanga okulaba nga bassa essira ku buyiiya n’okunoonyereza kisobozese abayizi b’eggwanga okuvaayo nga baganyuddwa era babeere bamugaso mu biseera byabwe eby’omu maaso. Wano Owek. Kaawaase alabudde abatwala Ssettendekero wa Muteesa I okulaba nga bakuuma ekitiibwa kyayo baleme kugaba mpapula za bicupuli. Bino abyogedde bw’abadde ku mukolo gw’okutongoza Nnamutaayiika wa Ssettendekro ono ow'emyaka ettaano okuva mu mwaka gwa 2025 okutuuka mu 2030


https://www.youtube.com/watch?v=8F9j42ltgWU

LEAVE A COMMENT