Owa Mobile Money Attiddwa mu Bukambwe
- ByAdmin --
- Feb 15, 2024 --
Abatuuze mu ku Kisuuna mu divizoni ya Kimaanya - Kabonera mu kibuga Masaka baguddemu ensisi oluvannyuma lwa mutuuze munnabwe okuttemulwa mu ntiisa n’oluvannyuma nebakuuliita n’ensimbi zabadde nazo. Kitegeerekese nti attiddwa abadde mukozi ku dduuka lya ‘mobile money’ mu kibuga Masaka era ng’obutemu buno bukoleddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero.