
Omwoleso Gw’Obwakabaka Ogw’ebyobulimi e Luweero Gugguddwawo, Aboolesi Boolesezza Ebintu Eby’enjawulo
- ByAdmin --
- Jun 14, 2024 --
Omwoleso gw’Obwakabaka ogw'obwegassi n’obulimi ziggyidwako akawuuwo olunaku lwa leero wakati mu kujjumbirwa abantu ba Kabaka okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Bangi kubagenze mu mwoleso guno bagamba nti baganyuddwa bya nsusso era waliwo ebizibu by’Ennimiro ebiwerako byebanogedde eddagala.