Omuwendo gw'Ababundabunda e Kiteezi Gweyongedde , Weema Eyateekebwawo Tekyamala
- ByAdmin --
- Aug 15, 2024 --
Wabaluseewo okwemulugunya mu bantu abali mu nkambi e Kiteezi ku bifo ebitono webayinza okunaabira ekiviiriddeko abangi okumala ennaku eziwera nga tebanaaba. Omuwendo gwababudami nagwo gulinnye era kyenkana gwekubisizzaamu emirundi esatu. Ekitongole ekigaba obuyambi ki Red Cross akadde konna kyolekedde okuteekawo weema endala.