
Omuvubuka Eyatemyetemye Omuntu Akwatiddwa, Asangiddwa Kyotera nga Yekukumye
- ByAdmin --
- May 17, 2024 --
Poliisi ng’eyambibwako ebitongole by’ebyokwerinda ebirala ekutte omuvubuka Kiza Arafaati eyalabikidde mu katambi nga ayagala okubba ensimbi ku Turyamuhangi Sam era nga yamutemye oluvannyuma lw'enteekateeka eno okugwa obutaka. Bino bikakasiddwa Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango era alabudde abantu okukomya okwetuumako ssente ku mirimu webakolera kubanga kiyinza okubaviiramu obulabe.