
Omutanda Asiibuludde Abasiraamu b'omu Masiro ge Kasubi, Wabaddewo n’Okutongoza Amazzi g’omu Masiro
- ByAdmin --
- Mar 12, 2025 --
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’asiibulula abantu be abasiraamu ababeera mu Masiro g’e Kasubi. Okusinziira ku Ssentebe w’olukiiko oluddaabiriza amasiro era akulira okukulaakulanya abantu ba Beene ku leediyo CBS, Owek. Hajji Kaddu Kiberu, amasiro gano galiko ekyafaayo ky’omuzikiti ogumu ku gyasooka. Omukolo gwetabiddwako Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ne Jjajja Gabunga.