Omutaka w’Ekika ky’Ekiwere Omubbulukuse, Ayanjuliddwa Katikkiro, Katikkiro Abasabye Okunyweza Ennono
- ByAdmin --
- Sep 24, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjukiza abakulembeze b’Ebika bya Baganda n’Abazzukulu, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Ssaabasajja okwewala okusobya Obuwangwa n'Ennono nga bwebwalambikibwa Bajjajjaffe. Bino abyogeredde wano ku Mbuga enkulu ey'Obwakabaka Bulange Mengo bw’abadde ayanjulirwa Omutaka w'Ekika ky'Ekiwere Omubbulukuse.