
Omutaka Namugera Akunze Bazzukulu be Okubeera Obumu
- ByAdmin --
- May 04, 2025 --
Omukulu w'Ekika ky’Omutima Omuyanja, Omutaka Namugera Nicholas Kakeeto asabye bazzukulu be okukomya entalo n’okulwanagana mu kika wabula amaanyi bagateeke ku kukola okulaba nga bakulaakulanya ekika kyabwe . Omutaka Kaketeto bino abyogeredde mu ssaza Buddu bwabadde alambula emirimu egikolebwa bazzukulu be mu ssaza lino.