Omutaka Luwonko James Zamuwanga Aterekeddwa, Ssaabasajja Kabaka Asiimye Emirimu Gye
- ByAdmin --
- Sep 26, 2024 --
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikoleddwa Omutaka w’Ekika ky’Ekiwere Luwonko James Mbale Zamuwanga omubuze gyakoledde Obuganda n'Ekika kye. Obubaka bwe bw’etikkiddwa Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Chotilda Nakate Kikomeko ku mukolo gw’okutereka Omutaka Omubuze Luwonko James Mbale Zamuwanga mu Ssaza Ssingo.