
Omutaka Kisolo Akalaatidde Abazzukulu Okulaama n’Okukuuma Ennono
- ByAdmin --
- Feb 03, 2025 --
Omukulu w'Ekika ky’Engonge, Omutaka Kisolo Muwanga Ssebyoto ayagala bazzukulu be banyiikirire ensonga y’okulaama gyagambye nti nkulu nnyo era etereeza buli kimu ng’omuntu afudde. Okwogera bino Omutaka Kisolo abadde Kikaabya - Tweyanze mu ggombolola ye Katikamu e Bulemeezi mu kwabya olumbe lw’omugenzi Hajji Alamanzani Muwanga.