Omutaka Kayiira Afiiriddwa Muwala we, Kyagulanyi Amusaasidde wamu n'Abenju ye
- ByAdmin --
- Oct 08, 2024 --
Omulabirizi we Namirembe, Rt Rev Moses Banja asabye abantu okukola byebakola ku nsi nga bakimanyi bulungi nti essaawa yonna baakudda eri Omutonzi eyabatonda. Omulabirizi Banja okwogera bino abadde akulembeddemu okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa muwala w’Omutaka Kayiira, Allen Namagembe eyavudde mu bulamu bw’ensi nga bino byonna bibadde Mutundwe.