Omusango gwa Katanga GwongezeddwayoOmusango gwa Katanga Gwongezeddwayo

Omulamuzi wa Kkooti enkulu ewozesa abazzna emisango gya nnaggomola Isaac Muwata ataddewo olwa nga 12 omwezi ogujja okuwa ensala ye ku kusaba kw’okweyimirirwa okwateekebwayo abavunaanwa mu musango gw’okutta omusuubuzi Henry Katanga okuli mukyala we muwala we n’abantu abalala basatu. Ku lunaku luno Kkooti lwegenda okuddamu okusomera abavunaanwa emisango egibavunaanibwa oluvanyuma lw’okusazaamu ekya Kkooti ento e Nakawa eyabasomera emisango kyeyagamba nti kimenya mateeka.


LEAVE A COMMENT