Omusango Gw’okutta Katanga Gukyagenda mu Maaso ,Abavunaanibwa Baagala Kweyimirirwa

Eby’okuwulira okusaba kw'okweyimirirwa okw’abantu abavunaanibwa omusango gw'okubuza obujulizi bw’okutta eyali omusuubuzi omututumufu Henry Katanga bizzeemu kigoye wezinge oluvannyuma lwa kkooti enkulu okuyimiriza okusaba kwabwe okw’okweyimirirwa okutuuka ng’emaze okuwa ensalawo yaayo oba nga ddala kyali kisaanidde omulamuzi wa kkooti ye Nakawa Erias Kakooza okukkiriza abavunaanwa okwanukula emisango egibavunaanibwa. Omusango guno buli ludda lwayungula bannamateeka abamanyi ng’oludda oluwaabi lukulemberwamu omuwaabi wa gavumenti Samali Wakoli ne Jonathan Muwaganya abayambibwako Mwesigwa Rukutana eyali amyuka ssaabawolereza wa gavumenti ate oluwawabirwa lukulembeddwamu munnamateeka Macdusman Kabega Jet John Tumwebaze nabalala.


LEAVE A COMMENT