Omusango Gw’abaalemera mu Lubigi, Bagaaniddwa Okuweebwa Akakalu ka Kkooti
- ByAdmin --
- Nov 19, 2024 --
Bannamateeka b’abantu abaakwatibwa ekitongole kya NEMA 36 olw’okulemera mu Lubigi batabukidde omulamuzi wa Kkooti esookerwako e Makindye Siena Owomugisha bwabalagidde okulonda ku bantu bano abaakwatibwa bataano bebaba basabira akakalu ka Kkooti nebagaana nga abagamba nti bagala bonna bayimbulwe. Bano babuulidde omulamuzi ono nga bano bwebalina obulwadde obubalumu n’agaana era n’abazzaayo Luzira okutuusa nga 2 omwezi ogujja.