
Omuliro Gusaanyizzaawo bya Bukadde, Abasuubuzi Bakolokose Poliisi olw’Obutabayamba
- ByAdmin --
- Jan 29, 2024 --
Omuliro gusaanyizzaawo ebintu by’abasuubuzi e Zigoti mu disitulikiti ye Mityana mu Ssaza Busujju era abasuubuzi bakeeredde mu maziga nga tebamanyi kya kuzzaako. Wano Abasuubuzi bakolokose Poliisi ezikiriza omuliro olw’obutabayamba kuzikiriza muliro guno ng’egamba nti emmotoka emaze emyezi egiwerako nga tekola. Bino byonna bibaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero