
Omulangira Walugembe Awandiise Ekitabo, Ssaabasajja Amusiimye Okuwandiika Ebiyigiriza Abantu
- ByAdmin --
- Apr 11, 2025 --
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Omulangira Edward Fredrick Walugembe olw'okuwandiika ekitabo ekikwata ku mwoyo gwa Ggwanga ky'agambye nti abanaakisoma bakugiganyulwamu. Ssaabasajja bino abitadde mu bubaka bw'ayisizza mu muwandiisi we ow'ekyama, Douglas Mukiibi era nga busomeddwa ku mukolo gw'okutongoza ekitabo ky'Omulangira Edward Fredrick Walugembe ekituumiddwa ‘Patriotism a call Principle to National Development’.