Omulangira Nakibinge Asabye Abasiraamu Okubeera Obumu
- ByAdmin --
- Nov 25, 2024 --
Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga, Omulangira Dr.Kassim Nakibinge Kakungulu asabye abasiraamu okukomya entalo amaanyi bagateeke ku biyinza okubatwala mu maaso n’okukulaakulanya eddiini yabwe. Omulangira Nakibinge era atenderezza emirimu gy’omugenzi Hajji-Ausi Luzinda n’enkolagana ennungi gyeyalina n’Obwakabaka. Ono bino abyogeredde ku dduwa y’omugenzi Hajji-Ausi Luzinda mu ggombolola ye Kimennyedde mu ssaza Kyaggwe