
Omulangira Nakibinge Akalaatidde Abazimba Emizikiti Okugattako Amasomero n’Amalwaliro
- ByAdmin --
- Oct 21, 2024 --
Jjaja w’Obusiraamu mu ggwanga, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu asabye gavumenti esse ebyuma ebikebera n’okwekebejja abantu ababeera bagenda emitala w’amayanja ku kisaawe Entebbe kubanga kizuuliddwa nga bangi bakukusa ebiragalalagala ebiviiriddeko n’abamu okussibwa ku kalabba mu mawanga gyebabeera babitutte n’okuttattana erinnya lya Uganda mu mawanga amalala. Bino abyogeredde Mpigi mu ssaza Mawokota mu dduwa y’okwaniriza abalamazi abaagenda e Mecca.