Omulabirizi Moses Banja Akalaatidde Abavubuka ku Nkulaakulana
- ByAdmin --
- Jan 29, 2024 --
Omulabirizi we Namirembe, Rt Rev. Moses Banja akubirizza abakulisitaayo okuyigira ku bajulizi abato abattibwa olw’eddiini yabwe kibayambeko okwongera okunywerera ku Katonda wabwe. Omulabirizi Banja okwogera bino abadde akulembeddemu okusaba okw’okujjukira abajulizi abato abasatu abattibwa e Busega okwali, Yusufu Lugalama eyali ow’emyaka 12, Mako Kakumba 16 ne Noah Sserwanga 19 nga bebajulizi abaasokera ddala okufiiririra eddiini yabwe ey’ekikulisitaayo mu 1885.