Omulabirizi Kagodo Agugumbudde Abaami, Abasabye Bakomye Obukodo mu Maka
- ByAdmin --
- Nov 04, 2024 --
Omulabirizi we Mukono, Enos Kitto Kagodo asabye abafumbo okukomya obukodo n’okusingira ddala abaami abesuulideyo ogwannnamba okuwa abakyala babwe ebyetaago kiyambeko okukuuma omukwano n’obufumbo mu maka gabwe. Okwogera bino Omulabirizi Kitto abadde ku kyalo Nsuube ku kkanisa ya Bishop James Hannington Church of Uganda nga atongoza Obusumba obupya obwe Nsuube n’okutuuza Omusumba w’Obusumba buno, Saulo Kambayaya.