Omuk.Freeman Kiyimba Atabukidde Abavvoola Obwakabaka, Agamba Baagala Kutabula Bwakabaka
- ByAdmin --
- Sep 26, 2024 --
Ssentebe wa Buganda Twezimbe mu Bwakabaka, Omukungu Jonh Fred Kiyimba Free Man alabudde Bannabuddu okwegendereza Bannakigwanyizi abeesomye okusuula Obwakabaka nga bayitira mu kuvvoola abakulembeze. Freeman okwogera bino abadde Masaka ku kyalo Kiyumba bw’abadde yeetabye mu Mmisa y’okuziika Edward Luswabi Mayanja abadde omusuubuzi omututumufu mu ggwanga.