Omujulizi Omusawo Awadde Obujulizi mu musango gwa Katanga, Agamba Yakubibwa Amasasi ku Mutwe
- ByAdmin --
- Aug 22, 2024 --
Nnamwandu w'eyali omusuubuzi mu Kampala Molly Katanga ayozezza ku mmunye omujulizi omusawo okuva mu ddwaliro e Mulago, Richard Ambayo bw’abadde awa obujulizi kwebyo byeyazuula nga yeekebejja omulambo gw’omugenzi Henry Katanga. Ono abuulidde Kkooti ebadde ekubirizibwa omulamuzi Isaac Muwata nti omugenzi yafa masasi agaamukubwa mu mutwe .