Omubaka we Mpigi Asimattuse Okufa, Ababbi Batutte Eby'omunju Byonna
- ByAdmin --
- Mar 06, 2024 --
Omubaka omukyala akiikirira disitulikiti ye Mpigi mu Palamenti Teddy Nambooze asimattuse okuttibwa abatemu bwebamuyingiridde mu kiro ekikeesezza olwaleero mu maka nebanyagulula ebintu by’omu nnyumba. Kigambibwa nti bano babadde n’ebijambiya ssaako ebiso nga bwebalemeddwa okuggula ekisenge nebakwatamu ebyanguwa nebakuuliita nabyo.