
Omubaka wa Bungereza Akiise Embuga, Katikkiro Amulombojjedde Ebyafaayo by’Obwakabaka
- ByAdmin --
- Jan 16, 2025 --
Obwakabaka bwa Buganda buweze okwongera okunyweza enkolagana wakati waabwo ne Bungereza naddala nga bannyikiza emiramwa gy’okutumbula embeera z’abavubuka mu Buganda ne Uganda n’emiramwa emirala egikulaakulanya abantu. Bino byogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga omubaka wa Bungereza mu Uganda Lisa Chesney bwabadde akiise Embuga enkya ya leero ng’ensisinkano eno ebadde wano ku Mbuga enkulu ey’Obwakabaka Bulange Mengo.