
Olutindo lw’Omugga Kaluma Luggaddwa , Emmotoka Ennene Tezikyakkirizibwa Kuyitako
- ByAdmin --
- May 07, 2024 --
Abavuzi b’emmotoka ennene abakozesa oluguudo lwa Gulu Highway baagala gavumenti eyanguyirizeeko omulimu gw’okuddaabiriza olutindo lw’omugga Kaluma luddemu okukozesebwa nga bwegubadde. Poliisi etegeezezza olwaleero nti olutindo luno luggaddwa obutaddamu kukozesebwa mmotoka nnene okumala ebbanga lya myezi esatu nga luddaabirizibwa. Kyokka ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu ggwanga ki UNRA kigamba kikyanoonya kampuni enaasobola okuddaabiriza olutindo luno era basuubira omulimu okutandika mu bbanga elitali ggere.