Olukug'aana lwa NAM Luyingidde Olunaku Olw'okusatu
- ByAdmin --
- Jan 18, 2024 --
Olwaleero luyingidde olunaku olw’okusatu nga olukungaana lwa NAM e munyonyo lugenda mu maaso abakulembeze mwebateseza ensonga ez’enjawulo nga olwaleero wabaddewo olukungaana lwa Baminisita okuva mu mawanga gonna agali mu NAM era minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga JJ Odong yalondeddwa okukulemberamu olukungaana luno. Amyuka omukulembeze w’eggwanga Rtd Maj Jessica Alupo yaguddewo olukungaana luno era akubirizza abakiise abali mu NAM okuteeka essira ku bisomooza amawanga gano byagamba nti byebisinze okugalemesa okukula.