
Olukiiko Olufuzi olwa Weerinde Luzziddwa Buggya, Katikkiro Akunze Obuganda Okwettanira Yinsuwa
- ByAdmin --
- Jun 06, 2024 --
Katikkiro wa Charles Peter Mayiga atongozza bboodi ya Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd empya. Bwabadde atongoza bboodi eno, Katikkiro ategeezezza nti omuntu alina byakola mu mirimu gye, yetaaga omusawo, munnamateeka, omubazi w'ebitabo, n'owa yinsuwa, noolwekyo kikulu nnyo okuyigiriza abantu obukulu bwa yinsuwa n'okuggyettanira era n’ategeeza nti okwolesebwa kw’Obwakabaka kwe kuzza Buganda ku ntikko, ekyetaagisa abantu abaagala, abatatya era abalina obumalirivu okuggyayo okwolesebwa okwo era neyebaaza abakulu ba bboodi okuvaayo n’obuvumu okuweereza Obuganda