Okwetegekera Olunaku lw’Abavubuka mu Buganda, Tiimu Zivuganyizza mu Nkobazambogo Cup
- ByAdmin --
- Nov 13, 2024 --
Ttiimu z’amatendekero agawaggulu 4 zeziyiseemu okuzannya omutendera ogukulembera ogw’akamalirizo ogw’empaka ezitegekeddwa olukiiko lw’abavubuka ba Buganda okwetegekera olunaku lw'abavubuka olugenda okubeerawo ku Lwomukaga luno. Empaka zino zitegekeddwa n’ekigendererwa eky’okugatta abavubuka.