Okwetegekera Ebigezo bya UNEB, Abayizi Basabiddwa Okwekwasa Katonda
- ByAdmin --
- Sep 30, 2024 --
Amasomero gonna mu ggwanga gakubiriziddwa okwewala ensobi eziyinza okuviirako abayizi abagenda okutuula ebigezo eby’akamalirizo okuttattana ebiseera byabwe ebyomumaaso. Bino byogeddwe Rev. John Kiyingi bwabadde akulembeddemu okusabira abayizi b’amasomero ga Gombe abagenda okutuula ebigezo. Mu ngeri yeemu amasomero ga Greenhill e Kibuli gasabidde abayizi baago abagenda okutuula ebigezo.