
Okwetegekera Ebibuuzo bya S. 4, Owek. Nsibirwa Asibiridde Abayizi Entanda
- ByAdmin --
- Oct 14, 2024 --
Omulabiri we Mukono eyawummula, Rt. Rev Elia Paulo Luzinda kizito asibiridde abayizi entanda y’okweggyamu okutya nga bakola ebigezo byabwe kwossa okwekwasa Omutonzi. Omumyuka asooka owa Katikkiro nga ye ssentebe wa bboodi y’amasomero ga Greenhill, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akuutidde abayizi okwewala obubbi bw’ebigezo n’abategeeza kino tekiraga bugunjufu n’obuntubulamu mu biseera byabwe ebyomumaaso.