
Okuzza Obuggya NRM mu Buganda, Abakulembeze Batandise Okutalaaga Ebitundu
- ByAdmin --
- Apr 01, 2025 --
Bannakibiina ki NRM mu ggwanga batandiise kaweefube w'okuzza obuggya ekibiina kyabwe okulaba nga kiddamu okufuna obuganzi mu bbendobendo lye Masaka ne Buganda okutwaliza awamu. Mu nteekateeka eno eyatuumiddwa Buganda for Museveni mwe bagenda okuyita okusaggula akalulu ka NRM n’okukola ku nsonga ez’abalemesa okuwangula mu kalulu ka 2021.