Okuzimba Ekitebe kya Disitulikiti ye Masaka Kuzzeemu Omukoosi, Waliwo Abakadde Abakaayanira Ettaka

Abatuuze mu Ggombolola y’e Buwunga, si basanyufu n’ebyobufuzi ebyetobese mu kuzimba ekitebe kya Disitulikiti ku Kyalo Nkuke nga bagamba nti waliwo Bannabyabufuzi abali emabega w’okutaataaganya enkulaakulana eno. Okusinziira ku mukubiriza w’olukiiko lwa Disitulikiti y’e Masaka Francis Kimuli, baatunuulira amateeka agabalambika okuzimba ekitebe era nebasalawo nti kizimbibwe ku kyalo Nkuke kyokka kibennyamiza ate Bannabyabufuzi abeenoonyeza ebyabwe ate okutaataaganya enkulaakulana mu kitundu.


https://www.youtube.com/watch?v=zyxI-7xSzXk

LEAVE A COMMENT