
Okuziika Eyali Katikkiro w’Ekika ky’Engo, Bamutenderezza Okukolera Ekika
- ByAdmin --
- May 01, 2024 --
Akulira Ekika ky’Engo, Omutaka Muteesaasira Namuyimba Keeya Tendo etenderezza nnyo emirimu egyakolebwa eyaliko Katikkiro w’Ekika kino, omugenzi Charles Williams Ssennabulya Mwanje ayogeddwako nti yakola ky’amaanyi okutandikawo ekkanisa ya Uganda Matyrs e Katwe. Bino bibadde mu mu bubaka bwe bwatisse Katikkiro kw’Ekika ky’Engo, Sebina Gyaviira Lubowa ku mukolo gw’okumuziika e Sokolo - Kasanje mu disitulikiti ye Wakiso.